ABABBIRA MU TAKISI Z’E NTEBE: Poliisi ekutte bana, egamba baakatta abantu 5

Описание к видео ABABBIRA MU TAKISI Z’E NTEBE: Poliisi ekutte bana, egamba baakatta abantu 5

Poliisi eriko abasajja 4 beekutte ku bigambibwa nti bebali emabega w’akabinja k’abamenyi b’amateeka ababbira mu taxi ezikolera ku luguudo lw’entebe naddala mu bitundu eby’e kajjansi nebatta n’abantu ng’okusinga bano babadde batemula bakyala.Poliisi etegeezezza nti bano okusinga babadde banyaga bakyala abatambula mu budde obw’ekiro n’oluvannyuma nebabatta emirambo gyabwe nebagisuula mu bitundu eby’enjawulo.Kubakwate bano waliwo poliisi gwekutte nemuzzaayo mu kimu ku bifo webagambirwa okukolera ebikolobero era waliwo n’omulambo oguzuuliddwawo.




#NTVNews #Akawungeezi


For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter   / ntvuganda  
Like our Facebook page   / ntvuganda  

Комментарии

Информация по комментариям в разработке